Acts 4:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baalaba obuvumu bwa Petero ne Yowanna, sso nga bamanyi bwe bataali bayigirize, wabula abantu aba bulijjo, ne beewuunya. Ne bamanya nti baayitanga ne Yezu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ab’Olukiiko bwe baalaba obuvumu bwa Peetero ne Yokaana, ate n’okutegeera ne bategeera nga tebaasoma, era nga si batendeke, ne beewuunya nnyo, ne bategeera ng’abasajja abo baabeeranga ne Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baalaba obuvumu bwa Peetero ne Yokaana, ate n'okutegeera ne bategeera nga si bayigirize, bantu ba bulijjo, ne beewuunya, ne bategeera nga baali wamu ne Yesu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baalaba obuvumu bwa Peetero ne Yowanne, era bwe baategeera nti be bantu abaabulijjo era abatali bayigirize, ne beewuunya. Era ne bakizuula nga baali wamu ne Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baalaba obugumu bwa Peetero ne Yokaana, ne babategeera okuba abantu abatamanyi kusoma era abataayigirizibwa nnyo, ne beewuunya, ne babeetegereza nga baali wamu ne Yesu.