Acts 4:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bwe baalaba omuntu eyawonyezebwa ng'ayimiridde nabo awo, ne babulwa we bakiwakanyiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era bwe baalaba omusajja eyawonyezebwa ng’ayimiridde nabo, n’eky’okubaddamu ne kibabula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe baalaba omuntu eyawonyezebwa ng'ayimiridde nabo, nga tebaalina kya kuddamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate bwe baalaba omuntu awonyezeddwa ng'ayimiridde wamu ne Peetero ne Yowanne, ne babulwa kye bagamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe baalaba omuntu eyawonyezebwa ng'ayimiridde nabo, tebaalina kya kuddamu.