Acts 4:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bagamba nti: “Abantu bano tubakolere ki? Anti akabonero akenkukunala ke bakoze kalabiddwa bonna ab'omu Yeruzaalemu; tetuyinza kukagaana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ab’olukiiko ne beebuuzaganya nti, “Abasajja bano tubakole tutya? Kubanga tetuyinza kwegaana ekyamagero eky’amaanyi ekikoleddwa mu bo; buli muntu yenna mu Yerusaalemi akitegedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne beebuuza nti, “ Abasajja bano tubakole tutya? Kubanga bakoze akabonero akayatiikiridde, ekigambo ekyo kimanyiddwa abantu bonna abatuula mu Yerusaalemi, so tetuyinza kukyegaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Tunaakola tutya abantu bano? Ekyewuunyo kye bakoze kimaze okumanyibwa abantu bonna ababeera mu Yerusaalemu, era tetuyinza kukigaana!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tunaakola tutya abantu bano? Kubanga bakoze akabonero akayatiikiridde, ekigambo ekyo kimanyiddwa abantu bonna abatuula mu Yerusaalemi, so tetuyinza kukyegaana.