Acts 4:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka kino obuteeyongera kucaakaala mu bantu, ka tubatiisetiise baleme kwongera kuyigiriza muntu n'omu mu linnya eryo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye engeri gye tunaaziyizaamu ebigambo byabwe okwongera okusaasaana kwe kubalabula n’amaanyi baleme kuddayo kwogera na muntu yenna ku linnya lya Yesu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kireme okweyongeranga okubuna mu bantu, tubakange balemenga okwogera mu linnya eryo n'omuntu yenna yenna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye okukiziyiza okubuna, ka tuyite abasajja bano, tubakangise, baleme kweyongera kwogera na muntu n'omu mu linnya eryo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kireme okwongeranga okubuna mu bantu, tubakange balemenga okwogera mu linnya eryo n'omuntu yenna yenna.