Acts 4:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne babayita; ne babakomereza obutayongera kuyigiriza mu linnya lya Yezu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne babayita bakomewo mu Lukiiko, ne babalagira baleme kuddayo nate kwogera ku linnya lya Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne babayita ne babalagira balemenga okwogera n'akatono newakubadde okuyigirizanga mu linnya lya Yesu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne babayita ne babalagira obutaddayo kwogera, wadde okuyigiriza omuntu n'omu mu linnya lya Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne babayita ne babalagira balemenga okwogera n'akatono newakubadde okuyigirizanga mu linnya lya Yesu.