Acts 4:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baamala okubatiisatiisa, ne babata, nga babuliddwa amagezi ag'okubabonereza olw'okubeera abantu; anti abantu bonna baali batenda Katonda olw'ekyali kikoleddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Olukiiko bwe lwamala okwongera okubatiisatiisa ne lubaleka ne bagenda, kubanga baabulwa kwe banaasinziira okubabonereza ne batasasamaza bantu. Kubanga abantu bonna baali bagulumiza Katonda olw’ekyo ekyabaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nabo, oluvannyuma lw'okwongera okubakanga, baabata, nga tebalaba kye banaabalanga okubabonereza, olw'ekibiina; kubanga bonna baali batendereza Katonda olw'ekyo ekikoleddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne beeyongera okubatiisatiisa ne babata, nga tebalaba bwe banaababonereza olw'okutya abantu, kubanga bonna baali nga batendereza Katonda olw'ekyo ekyakolebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nabo, oluvannyuma lw'okwongera okubakanga, baabata, nga tebalaba kye banaabalanga okubabonereza, olw'ekibiina; kubanga bonna baali batendereza Katonda olw'ekyo ekikoleddwa.