Acts 4:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bannaabwe olwabiwulira, ne basitulira kumu eddoboozi lyabwe eri Katonda, ne bagamba nti: “Ayi Mukama, ggwe wuuyo eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja na byonna ebizirimu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bonna bwe baabiwulira ne bayimusiza wamu amaloboozi gaabwe n’omwoyo gumu eri Katonda ne basaba nti, “Ayi Mukama, Omutonzi w’eggulu n’ensi n’ennyanja ne byonna ebibirimu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nabo bwe baawulira ne bayimusa eddoboozi lyabwe n'omwoyo gumu eri Katonda, ne bagamba nti, “Mukama, ggwe eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ebirimu byonna,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baabiwulira, ne beegatta wamu bonna, ne beegayirira Katonda nga bagamba nti: “Mukama, ggwe eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja, ne byonna ebibirimu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nabo bwe baawulira ne bayimusa eddoboozi lyabwe n'omwoyo gumu eri Katonda, ne bagamba nti Mukama, ggwe eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ebirimu byonna,