Acts 4:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ggwe wuuyo eyayogerera mu Mwoyo Mutuukirivu mu kamwa ka Dawudi omuweereza wo nti: “ ‘Lwaki ab'amawanga beejuumuula, n'abantu bakola enkwe omutali nsa?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ggwe Kitaffe wayogerera ku bwa Mwoyo Mutukuvu mu kamwa k’omuweereza wo, Dawudi bwe yagamba nti: “ ‘Lwaki Abaamawanga banyiigidde, n’abantu ne balowooza ebitaliimu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ggwe eyayogerera ku bw'Omwoyo Omutukuvu mu kamwa ka jjajjaffe Dawudi omuweereza wo nti,” “ ‘Ab'amawanga kiki ekibeesazizza akajegere, N'ebika birowoozezza ebitaliimu?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ku bwa Mwoyo Mutuukirivu wayogerera mu jjajjaffe Dawudi omuddu wo, n'ogamba nti: ‘Lwaki ab'amawanga amalala banyiize? Era lwaki abantu balowooza ebitaliimu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ggwe eyayogerera ku bw'Omwoyo Omutukuvu mu kamwa ka jjajjaffe Dawudi mulenzi wo nti Ab'amawanga kiki ekibeesazizza akajegere, N'ebika birowoozezza ebitaliimu?