Acts 4:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ggwe wamma, bombi Erode ne Ponsiyo Pilato beegatta wamu n'ab'amawanga n'Abayudaaya mu kibuga kino okulwanyisa Omuweereza wo Omutuukirivu Yezu, gwe wasiiga,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga baakuŋŋaanira mu kibuga. Kerode ne Pontiyo Piraato, awamu n’Abamawanga, n’Abayisirayiri, beegatta okulwanyisa Omuweereza wo Omutukuvu Yesu gwe wafukako amafuta,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Kubanga mazima baakuŋŋaanira mu kibuga muno ku muweereza wo omutukuvu Yesu, gwe wafukako amafuta, Kerode ne Pontio Piraato wamu n'ab'amawanga n'ebika bya Isiraeri,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ddala Herode ne Pontiyo Pilaato awamu n'abantu ba Yisirayeli n'ab'amawanga amalala baakuŋŋaanira mu kibuga muno, okulwanyisa Yesu Omuweereza wo omutuukirivu, gwe wafuula Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mazima baakuŋŋaanira mu kibuga muno ku Mulenzi wo omutukuvu Yesu, gwe wafukako amafuta, Kerode ne Pontio Piraato wamu n'ab'amawanga n'ebika bya Isiraeri,