Acts 4:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baamala okwegayirira, ekifo mwe baali bakuŋŋaanidde ne kikankana; bonna ne bajjula Mwoyo Mutuukirivu, ne boogera ekigambo kya Katonda n'obuvumu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe baamala okusaba, ekifo mwe baali bakuŋŋaanidde ne kinyeenyezebwa, bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ne babuulira ekigambo kya Katonda n’obuvumu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baamala okusaba, mu kifo we baakuŋŋaanira ne wakankana; bonna ne bajjula Omwoyo Omutukuvu, ne boogera ekigambo kya Katonda n'obuvumu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baamala okwegayirira Katonda, ekifo kyonna mwe baali bakuŋŋaanidde, ne kikankana. Bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu, era ne batandika okwogera ekigambo kya Katonda n'obuvumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baamala okusaba, mu kifo we baakuŋŋaanira ne wakankana; bonna ne bajjula Omwoyo Omutukuvu, ne boogera ekigambo kya Katonda n'obuvumu.