Acts 4:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibiina ky'abo abakkiriza kyali kya mutima gumu n'emmeeme emu; mpaawo n'omu yatwalanga by'alina ng'ebibye ku bubwe, wabula buli kintu nga bakitwala ng'ekya bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakkiriza bonna baalina omwoyo gumu n’omutima gumu; nga tewali agamba nti kino kye nnina kyange ku bwange, wazira nga bonna bagabanira wamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekibiina kyabwe abakkiriza baalina omutima gumu n'emmeeme emu; so tewaali n'omu eyayogeranga nti ekintu kyalina kye kikye yekka, naye byonna baabanga nabyo mu bumu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibiina kyonna eky'abakkiriza Kristo, kyalina omutima gumu n'emmeeme emu. Tewaali n'omu yagambanga nti ekintu ky'alina kikye yekka, wabula byonna bye baalina byabanga byabwe wamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekibiina kyabwe abakkiriza baalina omutima gumu n'emmeeme emu; so tewaali n'omu eyayogeranga nti ekintu ky'alina kye kikye yekka, naye byonna baabanga nabyo mu bumu.