Acts 4:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wamu ne Anna kabona omukulu, ne Kayafa, ne Yowanna ne Alekisanduro, na bonna ab'omu kika kya bakabona abakulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baali ne Ana Kabona Asinga Obukulu, ne Kayaafa, ne Yokaana, ne Alegezanda n’abalala bangi abaalina oluganda ne Kabona Asinga Obukulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne Ana kabona asinga obukulu, ne Kayaafa ne Yokaana ne Alegezanda, ne bonna ab'ekika kya kabona asinga obukulu:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baali ne Anna ne Kayaafa Ssaabakabona, ne Yowanne ne Alekizanda, wamu n'abalala ab'olulyo lwa Ssaabakabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne Ana kabona asinga obukulu, ne Kayaafa ne Yokaana ne Alegeezanda, ne bonna ab'ekika kya kabona asinga obukulu: