Acts 4:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne babasimba wakati, ne bababuuza nti: “Kale mmwe ebyo mubikola na maanyi ki, oba mu linnya ly'ani?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abatume bombi ne baleetebwa ne basimbibwa mu maaso g’Olukiiko. Ne bababuuza nti, “Buyinza ki oba linnya ly’ani kwe musinzidde okukola kino?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne babateeka wakati, ne bababuuza nti, “Maanyi ki oba linnya ki mmwe musinzidde okukola kino?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne balagira abatume okuyimirira mu maaso g'olukiiko, ne bababuuza nti: “Mwakozesa buyinza bw'ani, oba ani eyabasobozesa okuwonya omuntu ono?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne babateeka wakati, ne babuuza nti Maanyi ki oba linnya ki eribakoza mmwe ebyo?