Acts 5:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amangu ago omukazi n'agwa ku bigere bye, n'akalirawo. Abavubuka bwe baayingira, ne bamusanga ng'afudde, ne bamufulumya ne bamuziika kumpi ne bba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago n’agwa wansi ku bigere bya Peetero n’afiirawo. Abavubuka bwe baayingira ne bamusanga ng’afudde ne bamutwala ne bamuziika okuliraana bba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amangwago n'agwa ku bigere bya Peetero n'afiirawo. Abavubuka bwe baayingira ne bamusanga ng'afudde, ne bamutwala ne bamuziika okuliraana bba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amangwago n'agwa kumpi n'ebigere bya Peetero, n'afiirawo. Abavubuka bwe baayingira, ne bamusanga ng'afudde, ne bamutwala ne bamuziika okuliraana bba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amangu ago n'agwa ku bigere bye, n'atondoka: abalenzi bwe baayingira ne bamusanga ng'afudde, ne bamutwala ne bamuziika wamu ne bba.