Acts 5:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era abantu bangi ne beesomba okuva mu bibuga ebyetoolodde Yeruzaalemu, nga baleeta abalwadde n'abakwatiddwa emyoyo emigwagwa, bonna ne bawonyezebwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebibiina ne biva mu bibuga ebiriraanye Yerusaalemi, ne baleeta abalwadde n’abaaliko baddayimooni, bonna ne bawonyezebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ebibiina ne bikuŋŋaananga nga biva mu bibuga ebiriraanye Yerusaalemi, nga baleeta abalwadde n'abaali babonyaabonyezebwa dayimooni; ne bawonyezebwanga bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era abantu bangi ab'omu bibuga ebiriraanye Yerusaalemu, ne beesomba nga baleeta abalwadde n'abateganyizibwa emyoyo emibi, bonna ne bawonyezebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebibiina ne bikuŋŋaananga nga biva mu bibuga ebiriraanye Yerusaalemi, nga baleeta abalwadde n'abaali babonyaabonyezebwa dayimooni; ne bawonyezebwanga bonna.