Acts 5:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabo olwawulira ebyo, ne bagenda mu Kiggwa mu matulutulu, ne bayigiriza. Awo kabona omukulu n'ajja n'abo abaali naye, ne bayita olukiiko olukulu n'olukiiko lwonna olw'abakadde olwa Yisirayeli, ne batumya mu kkomera baleetebwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baawulira ebyo ne bayingira mu Yeekaalu mu matulutulu, ne bayigiriza. Kabona Asinga Obukulu ne be yali nabo ne bajja ne batuuza Olukiiko Olukulu olw’abakulu b’abaana ba Isirayiri, ne balyoka batuma mu kkomera okuleeta abasibe babawozese.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baawulira ne bayingira mu Yeekaalu mu matulutulu, ne bayigiriza. Naye kabona asinga obukulu n'ajja n'abaali naye, n'ayita olukiiko n'abakadde bonna ab'abaana ba Isiraeri, n'atuma mu kkomera okubaleeta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baawulira ebigambo ebyo, ne bakeera mu matulutulu, ne bayingira mu Ssinzizo, ne bayigiriza. Awo Ssaabakabona n'abaali naye, ne bajja ne bayita olukiiko, wamu n'abantu bonna abakulu mu ggwanga lya Yisirayeli, ne batumya mu kkomera okuleeta abatume.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baawulira ne bayingira mu yeekaalu mu matulutulu, ne bayigiriza. Naye kabona asinga obukulu n'ajja n'abaali naye, n'ayita olukiiko n'abakadde bonna ab'abaana ba Isiraeri, n'atuma mu kkomera okubaleeta.