Acts 5:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ekkomera tusanze lisibiddwa bulungi, n'abakuumi nga bayimiridde ku nzigi, naye bwe tugguddewo, tetusanzeemu muntu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga bagamba nti, “Tusanze enzigi z’ekkomera nga nsibe n’abakuumi bonna n’abaserikale nga bayimiridde ku nzigi; naye bwe tuziggudde, tetusanzeemu muntu n’omu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga bagamba nti, “ Ekkomera tusanze nga lisibiddwa bulungi ddala n'abakuumi nga bayimiridde ku nzigi; naye bwe tugguddewo, tetusanzeemu muntu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ekkomera tusanze lisibiddwa bulungi, n'abakuumi nga bayimiridde ku nzigi, naye bwe tuliggudde, tetusanzeemu muntu n'omu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga bagamba nti Ekkomera tusanze nga lisibiddwa bulungi ddala n'abakuumi nga bayimiridde ku nzigi; naye bwe tugguddewo, tetusanzeemu muntu.