Acts 5:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo omu we yajjira, n'ababuulira nti: “Abasajja be mwatadde mu kkomera baabali mu Kiggwa, bayimiridde bayigiriza abantu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu omu n’ajja n’abategeeza nti, “Abasajja be mwasibye mu kkomera bali eri mu Yeekaalu bayigiriza bantu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu n'ajja n'ababuulira nti, “ Laba, abantu bali be mwateese mu kkomera bali mu Yeekaalu bayimiridde nga bayigiriza abantu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne wabaawo eyajja n'abategeeza nti: “Abasajja be mwaggalidde mu kkomera, baabali bali mu Ssinzizo bayigiriza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu n'ajja n'ababuulira nti Laba, abantu bali be mwateese mu kkomera bali mu yeekaalu bayimiridde nga bayigiriza abantu.