Acts 5:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukuumi n'abaserikale ne bagenda, ne babaleeta, naye nga si na kukaka, anti baali batya abantu okubakuba amayinja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omukulu w’abaserikale ba Yeekaalu, n’agenda n’abaserikale ne babaleeta, si lwa maanyi, nga batya abantu okwegugunga n’okukuba abaserikale amayinja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omukulu n'abaami ne bagenda ne babaleeta, si lwa maanyi, kubanga baali batya abantu baleme okubakuba amayinja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omukulu w'abakuumi n'agenda ne basajja be, ne baleeta mpolampola abatume, kubanga baatya abantu okubakuba amayinja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omukulu n'abaami ne bagenda ne babaleeta, si lwa maanyi, kubanga baali batya abantu baleme okubakuba amayinja.