Acts 5:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abagamba nti: “Twabakuutira obutageza kuyigiriza mu linnya eryo, sso laba kati Yeruzaalemu kyonna mukibunyizza enjigiriza yammwe, ate mwagala n'okussaako omusaayi gw'omuntu oyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ng’agamba nti, “Tetwabalagira obutayigirizanga mu linnya eryo; naye laba mujjuzizza Yerusaalemi okuyigiriza kwammwe, era mumaliridde okutuleetako omusaayi gw’omuntu oyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ng'agamba nti, “Okulagira twabalagira obutayigirizanga mu linnya eryo: era, laba, mujjuzizza Yerusaalemi okuyigiriza kwammwe, ne mwagala okuleeta ku ffe omusaayi gw'omuntu oyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'abagamba nti: “Twabalagira obutayigirizanga mu linnya lya Yesu. Naye kati mujjuzizza Yerusaalemu okuyigiriza kwammwe, ne mwagala okututeekako omusango gw'okutta omuntu oyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ng'agamba nti Okulagira twabalagira obutayigirizanga mu linnya eryo: era, laba, mujjuzizza Yerusaalemi okuyigiriza kwammwe, ne mwagala okuleeta ku ffe omusaayi gw'omuntu oyo.