Acts 5:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Omufarisaayo omukiise mu lukiiko, erinnya lye Gamalyeli, omuyigiriza w'amateeka, assibwamu abantu ekitiibwa, n'ayimirira mu lukiiko, n'alagira abasajja bafulumizibweko akabanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omu ku abo abaali mu Lukiiko Olukulu, Omufalisaayo erinnya lye Gamalyeri, eyali omunnyonnyozi w’amateeka era nga n’abantu bamussaamu nnyo ekitiibwa, n’alagira abatume bagira bafulumizibwa ebweru.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omuntu n'ayimirira mu lukiiko, Omufalisaayo, erinnya lye Gamalyeri, Omuyigiriza w'amateeka, alina ekitiibwa mu bantu bonna, n'alagira bazze abasajja ebweru akaseera:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Omufarisaayo erinnya lye Gamaliyeeli, omunnyonnyozi w'amateeka, assibwamu ekitiibwa abantu bonna, n'ayimirira mu lukiiko, n'asaba abatume bafulumizibwe mu lukiiko okumala akaseera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omuntu n'ayimirira mu lukiiko, Omufalisaayo, erinnya lye Gamalyeri, omuyigiriza w'amateeka, alina ekitiibwa mu bantu bonna, n'alagira bazze abasajja ebweru akaseera: