Acts 5:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebbanga si ddene emabega, waagenda ne wasitukawo Tewuda, eyeeyitanga omuntu ow'ekitalo, abasajja ng'ebikumi bina ne bamwegattako; naye yattibwa, na bonna abaali bamugoberera ne babuna emiwabo; temuli kyavaamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emabegako waaliwo omusajja erinnya lye Syuda, yasituka era n’alowoozesa abantu nti muntu mukulu, era abantu ng’ebikumi bina ne bamugoberera; naye yattibwa abaali bamugoberera ne basaasaana ne bikoma awo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga edda mu biro ebyayita Syuda yagolokoka ng'agamba nti, ‘ ye muntu omukulu.’ Abantu nga bikumi bina (400) ne beegatta naye, n'attibwa, bonna abaamuwulira ne basaasaana, emirerembe ne gikoma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu nnaku eziyise, waasitukawo Tewuda ng'agamba nti ye muntu omukulu, era abasajja nga bikumi bina ne bamugoberera. Kyokka bwe yattibwa, abagoberezi be ne basaasaana. Ebibye ne bikoma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga edda mu biro ebyayita Syuda yagolokoka ng'agamba nti ye muntu omukulu, abantu nga bikumi bina ne beegatta naye: n'attibwa, bonna abaamuwulira ne basaasaana, emirerembe ne gikoma.