Acts 5:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oyo bwe yavaawo, ne wasitukawo Yuda Omugalilaaya, mu budde obw'okwewandiisa, n'asika abamu okumugoberera; n'oyo n'azikirira, na bonna abaali bamugoberera ne basaasaana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo bwe yavaawo ne wasituka Yuda Omugaliraaya mu biseera eby’okubala abantu. Abantu bangi ne bamugoberera, kyokka bwe yattibwa, abagoberezi be ne basaasaana ne bataddayo kuwulikikako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma lwe ne wasituka wo Yuda Omugaliraaya mu nnaku ez'okuwandiikibwa, n'atwala ekibiina okumugoberera: n'oyo n'abula, bonna abaamuwulira ne basaasaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo bwe yavaawo, ne wasitukawo Yuda Omugalilaaya, mu biseera eby'okubala abantu. N'afuna abagoberezi bangi. Oyo naye yazikirira era abagoberezi be ne basaasaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oluvannyuma lwe n'agolokoka Yuda Omugaliraaya mu nnaku ez'okuwandiikibwa, n'atwala ekibiina okumugoberera: n'oyo n'abula, bonna abaamuwulira ne basaasaana.