Acts 5:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno kyenva mbagamba nti abantu bano mubaveeko, mubaleke, kubanga entegeka eno n'omulimu guno obanga bya bantu, bijja kuzikirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo kye ŋŋamba kye kino nti, Abasajja bano mubaleke bagende! Kubanga, obanga enteekateeka eno y’abantu ejja kukoma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne kaakano mbagamba nti, ‘ Mwebalame abantu bano, mubaleke,’ kubanga okuteesa kuno n'omulimu guno oba nga bivudde mu bantu, birizikirira;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno kaakano mbagamba nti muve ku bantu bano, mubaleke, kubanga ebyo bye bateekateeka ne bye bakola bwe biba nga bya bantu buntu, bijja kuggwaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kaakano mbagamba nti Mwebalame abantu bano, mubaleke: kubanga okuteesa kuno n'omulimu guno oba nga bivudde mu bantu, birizikirira;