Acts 5:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye obanga biva wa Katonda, temujja kusobola kubizikiriza; ate mpozzi mujja kwesanga nga mulwanyisa Katonda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye obanga biva eri Katonda, temuyinza kubaziyiza, kubanga mujja kuba nga mulwanyisa Katonda.” Ne bamuwulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye oba nga bya Katonda, temuyinza kubizikiriza; muleme okulabika ng'abalwana ne Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe biba nga bya Katonda, temusobola kubizikiriza. Era muyinza okwejjuukiriza nga mulwanagana na Katonda!” Olukiiko ne lugoberera amagezi ga Gamaliyeeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye oba nga bya Katonda, temuyinza kubizikiriza; muleme okulabika ng'abalwana ne Katonda.