Acts 5:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'ebadde tennatundibwa, tebadde yiyo? Bw'emaze okutundibwa, tebadde mu buyinza bwo? Lwaki nno olowoozezza ekigambo ekyo mu mutima gwo? Tolimbye bantu, wabula Katonda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Teyali yiyo? Era bwe yamala okutundibwa, teyali mu buyinza bwo? Lwaki ekikolwa ekyo kikujjidde mu mutima gwo? Tolimbye bantu wabula olimbye Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yali eyo, teyali yiyo? Era bwe yamala okutundibwa, teyali mu buyinza bwo? Lwaki oteeseezza mu mutima gwo okukola bw'otyo? Tolimbye bantu, wabula Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe wali tonnagitunda teyali yiyo? Era n'ensimbi ze wafunamu tezaali mu buyinza bwo? Kale lwaki wateesezza mu mutima gwo okukola ekintu ekifaanana bwe kityo? Tolimbye bantu, wabula olimbye Katonda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yali eyo, teyali yiyo? Era bwe yamala okutundibwa, teyali mu buyinza bwo? Kiki ekikuteesezza mu mutima okukola bw'oti? Tolimbye bantu, naye Katonda.