Acts 5:42 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate buli lunaku mu Kiggwa n'awaka nga tebayosa kuyigiriza n'okulangirira Kristu Yezu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne bayigirizanga mu Yeekaalu buli lunaku ne mu maka g’abantu, nga babuulira Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli lunaku mu Yeekaalu ne mu nnyumba eka tebaayosanga kuyigirizanga n'okubuuliranga Yesu nga ye Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era buli lunaku, mu Ssinzizo ne mu maka, tebaayosanga kuyigiriza na kutegeeza bantu nti Yesu ye Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli lunaku mu yeekaalu ne mu nnyumba eka tebaayosanga kuyigirizanga n'okubuuliranga Yesu nga ye Kristo.