Acts 5:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waali waakayita ebbanga nga lya ssaawa ssatu, ne mukazi we n'ayingira, nga tamanyi bifuddeyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe waali wayiseewo essaawa nga ssatu, mukyala we naye n’ayingira, kyokka nga tategedde bibaddewo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe waali wayiseewo essaawa ssatu, mukazi we naye n'ayingira nga tamanyi bwe bibadde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe waayitawo ebbanga lya ssaawa nga ssatu, mukazi we naye n'ayingira. Yali nga tamanyi bibaddewo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka waali wayiseewo essaawa ssatu mukazi we naye n'ayingira nga tamanyi bwe bibadde.