Acts 5:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Petero n'amugamba nti: “Lwaki mwetabye wamu okukema Mwoyo w'Omukama? Wulira ebigere by'abo abaziise balo biri ku mulyango; naawe bajja kukufulumya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Peetero n’amugamba nti, “Lwaki mwateesezza okukema Omwoyo wa Mukama? Laba, ebigere by’abo abaziise balo biri ku mulyango naawe bagenda kukutwala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Peetero n'amugamba nti, “ Kiki ekibekobaanyiza okukema Omwoyo gwa Mukama? Laba, ebigere byabwe abaziise balo biri ku luggi, banaakutwala naawe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Peetero n'amubuuza nti: “Lwaki mwakkiriziganyizza okukema Mwoyo wa Mukama? Laba, abaziise balo baabo bayingira, naawe banaakutwala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Peetero n'amugamba nti Kiki ekibatabaganyizza okukema Omwoyo gwa Mukama? Laba, ebigere byabwe abaziise balo biri ku luggi, banaakutwala naawe.