Acts 6:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo, omuwendo gw'abayigirizwa bwe gwagenda gweyongera, Abagereeki ne batandika okwemulugunyiza Abeebureeyi, kubanga bannamwandu baabwe tebaafibwangako mu kugabana okwa bulijjo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo mu biseera ebyo abakkiriza bwe baagenda beeyongera obungi, ne wabaawo okwemulugunya mu Bakerenisiti ku Baebbulaniya nti bannamwandu baabwe basosolwa, ne bataweebwa kyenkanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu nnaku ezo, abayigirizwa bwe beeyongera obungi, ne wabaawo okwemulugunya okwava mu Bakerenisiti ku Baebbulaniya, kubanga bannamwandu baabwe basosolwanga ne bataweebwanga kyenkanyi ebintu ebyabagabirwanga bulijjo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo mu nnaku ezo, abayigirizwa bwe beeyongera obungi, Abayudaaya aboogera Oluyonaani ne beemulugunyiza bannaabwe aboogera Olwebureeyi, kubanga bannamwandu baabwe tebaaweebwanga bulungi bintu ebyagabibwanga buli lunaku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu nnaku ezo, abayigirizwa bwe beeyongera obungi, ne wabaawo okwemulugunya mu Bakerenisiti ku Baebbulaniya, kubanga bannamwandu baabwe baabafissanga mu kuweereza okwa bulijjo.