Acts 6:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Ekkumi n'Ababiri ne bakuŋŋaanya ekibiina ky'abayigirizwa, ne babagamba nti: “Si kituufu ffe okulekayo okuyigiriza ekigambo kya Katonda ne tudda mu kugaba emmere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ekkumi n’ababiri ne bakuŋŋaanya ekibiina ky’abayigirizwa, ne babagamba nti, “Kirungi ebiseera byaffe tubimalire ku kubuulira Njiri, so si mu kugabanya mmere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekkumi n'ababiri (12) ne bayita ekibiina ky'abayigirizwa, ne bagamba nti, “Tekiwooma ffe okulekanga ekigambo kya Katonda okuweerezanga ku mmeeza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abatume ekkumi n'ababiri ne bayita abayigirizwa bonna, ne babagamba nti: “Tekisaana ffe okuleka okuyigiriza ekigambo kya Katonda, ne tudda mu kugabanya ebintu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekkumi n'ababiri ne bayita ekibiina ky'abayigirizwa, ne bagamba nti Tekiwooma ffe okulekanga ekigambo kya Katonda okuweerezanga ku mmeeza.