Acts 7:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yamuwonya ennaku ze zonna, n'amuwa okuganja n'amagezi eri Faraawo kabaka w'e Misiri; ye n'amufuula mufuzi mu Misiri ne ku nnyumba ye yonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’amuwonya mu kubonaabona kwonna era n’amuwa ekisa n’amagezi mu maaso ga Falaawo, ye kabaka w’e Misiri. Falaawo n’amuwa okufuga Misiri yonna era n’amukwasa okulabirira byonna ebifa mu lubiri lwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'amulokola mu nnaku ze zonna, n'amuwa okuganja n'amagezi mu maaso ga Falaawo kabaka w'e Misiri, n'amufuula omufuzi mu Misiri ne mu nnyumba ye yonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'amuwonya mu kubonaabona kwe kwonna, n'amuwa amagezi n'okuganja eri Faraawo kabaka w'e Misiri, eyamufuula omufuzi mu Misiri ne mu lubiri lwe lwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'amulokola mu nnaku ze zonna, n'amuwa okuganja n'amagezi mu maaso ga Falaawo kabaka w’e Misiri, n'amufuula omufuzi mu Misiri ne mu nnyumba ye yonna.