Acts 7:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ono n'asalira eggwanga lyaffe enkwe, n'akaka bajjajjaffe okubasuuza abaana baabwe abawere baleme kulama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka oyo n’asalira eggwanga lyaffe amagezi, n’abonyaabonya bajjajjaffe, ng’abasuuza abaana baabwe abawere baleme okuba abalamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo bwe yasalira amagezi eggwanga lyaffe, n'akola obubi bajjajjaffe, ng'abasuuzanga abaana baabwe abawere baleme okubeera abalamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo n'asalira eggwanga lyaffe enkwe, n'abonyaabonya nnyo bajjajjaffe, n'abasuuzanga abaana baabwe abawere, bafe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo bwe yasalira amagezi eggwanga lyaffe, n'akola obubi bajjajjaffe, ng'abasuuzanga abaana baabwe abawere baleme okubeera abalamu.