Acts 7:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo ne Musa we yazaalirwa, nga mulungi mu maaso ga Katonda, n'alerebwa emyezi esatu mu nnyumba ya kitaawe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mu biseera ebyo ne Musa n’azaalibwa, n’ayagalwa nnyo Katonda. Bakadde be ne bamulabirira mu nnyumba yaabwe okumala emyezi esatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu biro ebyo Musa n'azaalibwa, n'abeera mulungi eri Katonda, ne bamuliisiza emyezi esatu mu nnyumba ya kitaawe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiseera ekyo Musa n'azaalibwa, nga mwana mulungi nnyo. Ne bamuyonseza emyezi esatu mu nnyumba ya kitaawe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro ebyo Musa n'azaalibwa, n'abeera mulungi eri Katonda, ne bamuliisiza emyezi esatu mu nnyumba ya kitaawe.