Acts 7:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bwe yaweza emyaka ana, ekirowoozo ne kimujjira mu mwoyo eky'okulambula baganda be, abaana ba Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Awo Musa bwe yali awezezza emyaka amakumi ana, n’asalawo mu mutima gwe okukyalirako baganda be, abaana ba Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naye bwe yaweza emyaka ana (40), n'alowooza mu mutima gwe okulaba baganda be, abaana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Musa bwe yaweza emyaka amakumi ana, n'ajjirwa ekirowoozo eky'okukyalira baganda be Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye obukulu bwe yali alitera okutuusa emyaka amakumi ana, n'alowooza mu mutima gwe okulaba baganda be, abaana ba Isiraeri.