Acts 7:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olunaku olwaddirira, n'ajja gye bali nga balwana, n'agezaako okubatabaganya ng'agamba nti: ‘Basajja battu, muli ba luganda; lwaki mukoleragana obubi?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olunaku olwaddirira n’alaba abalwana. N’agezaako okubatabaganya ng’abagamba nti, ‘Abasajja lwaki mulwana nga muli baaluganda?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nate ku lunaku olwokubiri n'abasanga nga balwana, n'agezaako okubatabaganya, ng'agamba nti Abasajja, mmwe muli ba luganda: kiki ekibakoza obubi mwekka na mwekka?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olunaku olwaddirira, n'asanga Abayisirayeli babiri nga balwana, n'agezaako okubatabaganya ng'agamba nti: ‘Basajja mmwe, muli baaluganda, lwaki mulwanagana?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nate ku lunaku olw'okubiri n'abasanga nga balwana, n'agezaako okubatabaganya, ng'agamba nti Abasajja, mmwe muli ba luganda: kiki ekibakoza obubi mwekka na mwekka?