Acts 7:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye oli eyali akolera munne obubi n'amusindika eri, n'amugamba nti: ‘Ani yakussaawo ng'omukulu era omulamuzi waffe?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye oli eyali ayiikiriza munne n’asindika eri Musa ng’agamba nti, ‘Ani eyakufuula omufuzi waffe era omulamuzi waffe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye oli eyali akola munne obubi n'amusindika eri, ng'agamba nti Ani eyakufuula ggwe omukulu n'omulamuzi waffe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye oli eyali akuba munne, n'asindika eri Musa, ng'agamba nti: ‘Ani yakufuula omufuzi era omulamuzi waffe?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye oli eyali akola munne obubi n'amusindika eri, ng'agamba nti Ani eyakufuula ggwe omukulu n'omulamuzi waffe?