Acts 7:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nga wayise emyaka ana, malayika n'amulabikira mu ddungu ku lusozi Sinayi, mu lulimi lw'omuliro mu kisaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Awo nga wayiseewo emyaka amakumi ana, Musa bwe yali ng’ali mu ddungu ly’olusozi Sinaayi, malayika n’amulabikira mu muliro ogwaka, wakati mu kisaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Awo oluvannyuma lwe emyaka ana, malayika wa Mukama n'amulabikira mu nnimi z'omuliro nga gwaka mu kisaka, bwe yali mu ddungu ku lusozi Sinaayi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe waayitawo emyaka amakumi ana, malayika wa Mukama n'alabikira Musa mu nnimi ez'omuliro ogwali gwakira mu kisaka mu ddungu, okumpi n'olusozi Sinaayi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo emyaka amakumi ana bwe gyatuuka, malayika wa Mukama n'amulabikira mu nnimi z'omuliro nga gwaka mu kisaka, bwe yali mu ddungu ku lusozi Sinaayi.