Acts 7:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
eddoboozi ly'Omukama ne lyogera nti: ‘Nze Katonda wa bajjajjaabo, Katonda wa Yiburayimu, Katonda wa Yizaake, Katonda wa Yakobo.’ Musa n'ajugumira, n'ataguma na kwetegereza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
‘Nze Katonda wa bajjajja bo, Katonda wa Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo.’ Musa n’akankana, era n’atasobola na kwongera kutunulayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nti Nze Katonda wa bajjajja bo, Katonda wa Ibulayimu, era owa Isaaka, era owa Yakobo. Musa n'akankana, so teyaguma kutunuulira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Nze Katonda wa bajjajjaabo, Katonda wa Aburahamu, era owa Yisaaka, era owa Yakobo.’ Musa n'akankana, n'atya okutunuulira nate.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze Katonda wa bajjajja bo, Katonda wa Ibulayimu, era owa Isaaka, era owa Yakobo. Musa n'akankana, so teyaguma kutunuulira.