Acts 7:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mazima ndabye okubonaabona kw'abantu bange mu Misiri, mpulidde emiranga gyabwe, ne nzikirira mbawonye. Kale nno, genda, nkutuma mu Misiri.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndabye okubonaabona kw’abantu bange mu Misiri, ne mpulira n’okusinda kwabwe. Kyenvudde nzika okubalokola. Kaakano jjangu, nkutume e Misiri.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okulaba ndabye okukolwa obubi abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okusinda kwabwe, ne nzika okubawonya. Kale kaakano jjangu, nnaakutuma mu Misiri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ntunudde ne ndaba abantu bange abali mu Misiri bwe babonyaabonyezebwa, mpulidde okusinda kwabwe, ne nzika okubawonya. Kale jjangu nkutume e Misiri.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okulaba ndabye okukolwa obubi abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okusinda kwabwe, ne nzika okubawonya. Kale kaakano jjangu, nnaakutuma mu Misiri.