Acts 7:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Musa oyo gwe baali bagaanyi nga bawoza mbu: ‘Ani yakussaawo ng'omukulu era omulamuzi waffe?’ Katonda gwe yatuma ng'omukulu era omununuzi n'omukono gwa malayika eyamulabikira mu kisaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Oyo Musa gwe baagaana nga bagamba nti, ‘Ani eyakufuula omufuzi era omulamuzi waffe?’ Oyo Katonda gwe yatuma ng’ayita mu malayika eyamulabikira mu kisaka eky’omuliro, abeere omufuzi waabwe era omununuzi waabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Oyo Musa gwe baagaana nga bagamba nti Ani eyakufuula omukulu era omulamuzi? Oyo Katonda gwe yatuma okuba omukulu era omununuzi mu mukono gwa malayika eyamulabikira mu kisaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Musa oyo gwe baagaana nga bagamba nti: ‘Ani yakufuula omufuzi era omulamuzi waffe?’ Katonda gwe yatuma ng'ayita mu malayika eyamulabikira mu kisaka, abe omufuzi era omununuzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo Musa gwe baagaana nga bagamba nti Ani eyakufuula omukulu era omulamuzi? oyo Katonda gwe yatuma okuba omukulu era omununuzi mu mukono gwa malayika eyamulabikira mu kisaka.