Acts 7:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yabaggyayo ng'amaze okukola ebyewuunyo n'obubonero mu nsi y'e Misiri ne mu Nnyanja Emmyufu ne mu ddungu okumala emyaka amakumi ana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo n’abaggyayo ng’amaze okukola ebyamagero n’ebyewuunyisa, mu nsi y’e Misiri, n’abayisa mu Nnyanja Emyufu, n’abatambuza mu ddungu okumala emyaka amakumi ana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo n'abaggyayo bwe yamala okukola amagero n'obubonero mu Misiri, ne mu Nnyanja Emmyufu, ne mu ddungu emyaka ana (40).”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye yabakulembera ng'akola ebyamagero n'ebyewuunyo mu nsi y'e Misiri, ne mu nnyanja emmyufu ne mu ddungu, emyaka amakumi ana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo n'abaggyayo bwe yamala okukola amagero n'obubonero mu Misiri, ne mu Nnyanja Emmyufu, ne mu ddungu emyaka amakumi ana.