Acts 7:38 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye wuuyo eyabeeranga n'ekibiina mu ddungu wamu ne malayika eyayogeranga naye ku lusozi Sinayi, era eyabeeranga ne bajjajjaffe, eyafuna ebigambo ebiramu okubituwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Musa oyo ye yali ne bajjajjaffe mu ddungu nga bakuŋŋaanye nga malayika ayogera naye ku lusozi Sinaayi, era yaweebwa ebigambo eby’obulamu okubitutuusaako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo ye yali mu kkanisa mu ddungu, wamu ne malayika eyayogerera naye ku lusozi Sinaayi, era wamu ne bajjajjaffe; eyaweebwa ebigambo eby'obulamu okutuwa ffe:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa ye wuuyo eyaliwo Abayisirayeli bonna bwe baakuŋŋaanira mu ddungu. Yali ne malayika eyayogera naye ku Lusozi Sinaayi, era eyali ne bajjajjaffe. Ye wuuyo eyaweebwa ebigambo by'obulamu okubituwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo ye yali mu kkanisa mu ddungu, wamu ne malayika eyayogerera naye ku lusozi Sinaayi, era wamu ne bajjajjaffe; eyaweebwa ebigambo eby'obulamu okutuwa ffe: