Acts 7:41 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bakola akayana mu nnaku ezo, ne batambirira ekifaananyi ekyo, ne basanyukira kye baali bakoze n'emikono gyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu nnaku ezo, ne beekolera ennyana, ne bawaayo ssaddaaka eri ekifaananyi, ne basanyukira ekyo kye beekoledde n’emikono gyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bakola ennyana mu nnaku ziri, ekifaananyi ne bakireetera ssaddaaka, ne basanyukira emirimu gy'emikono gyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne bakola ekifaananyi ky'ennyana, ne bawaayo ebitambiro eri ekifaananyi ekyo, ne basanyukira ekintu ekyo kye beekoledde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bakola ennyana mu nnaku ziri, ekifaananyi ne bakireetera ssaddaaka, ne basanyukira emirimu gy'emikono gyabwe.