Acts 7:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'akyuka n'abawaayo mu kusinza nnamunkukumbo w'eggulu, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo ky'abalanzi nti: “ ‘Si mwampeereza ebitambiro n'ebitone, emyaka amakumi ana mu ddungu, nnyumba ya Yisirayeli?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Katonda n’abavaako, n’abawaayo okusinzanga eggye ery’omu ggulu, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya bannabbi nti, “ ‘Mwandeeteranga ssaddaaka n’ebiweebwayo mu ddungu emyaka gyonna amakumi ana, ggw’ennyumba ya Isirayiri?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Katonda n'akyuka, n'abawaayo okusinzanga eggye ery'omu ggulu; nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya bannabbi nti” “ ‘Mwampeeranga nze ensolo ezattibwanga ne ssaddaaka Emyaka ana (40) mu ddungu, ennyumba ya Isiraeri?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Katonda n'abavaako, n'abawaayo okusinzanga emmunyeenye ez'oku ggulu, nga bwe kisangibwa mu byawandiikibwa abalanzi nti: ‘Mmwe Abayisirayeli, ensolo ezattibwanga era n'ebitambiro mwabiwanga nze mu myaka amakumi ana gye mwamala mu ddungu?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Katonda n'akyuka, n'abawaayo okusinzanga eggye ery'omu ggulu; nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya bannabbi nti Mwampeeranga nze ensolo ezattibwanga ne ssaddaaka Emyaka amakumi ana mu ddungu, ennyumba ya Isiraeri?