Acts 7:43 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwasitula weema ya Moloki, n'emmunyeenye ya lubaale Romufa, ebifaananyi bya balubaale bye mwakola mubisinze; kale nange nzija kubawaŋŋangusa n'okuyisa Babiloni.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muzimbye essabo lya Moloki, ne mugulumiza emmunyeenye ya katonda wammwe Lefani, nga be bakatonda abalala be mwekolera mubasinze. Kyendiva mbawaŋŋangusa’ okusukka Babulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne musitula eweema ya Moloki, N'emmunyeenye ya katonda Lefani, Ebifaananyi bye mwakola okubisinzanga: Nange ndibatwala okusukka Babbulooni.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nedda, mwasitula weema ya lubaale Moleki, n'emmunyeenye ya lubaale Refani. Ebyo bye bifaananyi bye mwakola, mulyoke mubisinze. N'olwekyo ndibawaŋŋangusiza emitala wa Babilooni.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne musitula eweema ya Moloki, N'emmunyeenye ya katonda Lefani, Ebifaananyi bye mwakola okubisinzanga: Nange ndibatwala ennyuma w’e Babbulooni.