Acts 7:45 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bajjajjaffe baamala okugifuna, ne bagireeta wamu ne Yoswa bwe baamala okulya ensi y'ab'amawanga Katonda be yagoberawo bajjajjaffe. Bwe kityo bwe kyali okutuusa mu biro bya Dawudi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bajjajjaffe bajja bagisituzza abaana baabwe, okutuusa Yoswa lwe yajja nayo okulya ensi y’abamawanga Katonda be yagobanga mu maaso ga bajjajjaffe. Eweema n’ebeerawo okutuusa ku mirembe gya Dawudi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bajjajjaffe bwe baagiweebwa ne bagireeta wamu ne Yoswa bwe baalya amatwale g'ab'amawanga, Katonda be yagobanga mu maaso ga bajjajjaffe okutuusa mu nnaku za Dawudi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bajjajjaffe nabo ne bagifuna, ne bajja nayo. Bwe baayingira mu nsi muno nga bali ne Yoswa, ne beefuga ensi y'ab'amawanga amalala, Katonda be yagobamu nga bajjajjaffe balaba. Eweema eyo yabeera mu nsi muno okutuusiza ddala mu biseera bya Dawudi
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bajjajjaffe bwe baagiweebwa ne bagireeta wamu ne Yoswa bwe baalya amatwale g'ab'amawanga, Katonda be yagobanga mu maaso ga bajjajjaffe okutuusa mu nnaku za Dawudi;