Acts 7:49 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Eggulu ye nnamulondo yange, ate ensi ke katebe k'ebigere byange; nnyumba ki gye munanzimbira, Omukama y'agamba, Kifo ki mwe nnaawummulira?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Eggulu y’entebe yange ey’obwakabaka. N’ensi ke katebe kwe nteeka ebigere byange. Mukama n’agamba nti, Ononzimbira nnyumba ya ngeri ki? Oba kifo ki mwe ndiwummulira?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“ ‘Eggulu ye ntebe yange, N'ensi ye ntebe y'ebigere byange: Nnyumba ki gye mulinzimbira? bw'ayogera Mukama: Oba kifo ki mwe ndiwummulira?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Eggulu y'entebe yange, n'ensi kwe nzisa ebigere byange. Mulinzimbira nnyumba ki? Oba kifo ki mwe ndiwummulira?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eggulu ye ntebe yange, N'ensi ye ntebe y'ebigere byange: Nnyumba ki gye mulinzimbira? bw'ayogera Mukama: Oba kifo ki mwe ndiwummulira?