Acts 7:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
naye teyamuwaamu busika, newandibadde obuweza ekigere ekimu; kyokka n'amusuubiza okubumuwa bubeerere ddala bubwe n'ezzadde lye eririmuddirira, newandibadde nga mu bbanga eryo teyalina mwana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye n’atamuwaako ttaka lirye newaakubadde awalinnyibwa ekigere. Kyokka n’asuubiza okugimuwa okugirya, ye n’ezzadde lye oluvannyuma lwe, newaakubadde nga mu kiseera ekyo lbulayimu teyalina mwana!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
so teyamuwa butaka muno newakubadde awalinnyibwa ekigere: n'asuubiza okugimuwa okugirya, ye n'ezzadde lye oluvannyuma lwe, nga tannaba na mwana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'atagimuwaamu ttaka, wadde akatundu akaweza ekigere ekimu. Kyokka n'amusuubiza okugimuwa ebe yiye ne bazzukulu be abaliddawo, sso nga yali talina mwana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so teyamuwa butaka muno newakubadde awalinnyibwa ekigere: n'asuubiza okugimuwa okugirya, ye n'ezzadde lye oluvannyuma lwe, nga tannaba na mwana.