Acts 7:51 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mmwe ab'ensingo enkakanyavu, ab'emitima n'amatu ebitali bitayirire, bulijjo muwaganyalira Mwoyo Mutuukirivu. Nga bajjajjammwe bwe baali, nammwe bwe muli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mmwe abalina ensingo enkakanyavu, abatakomolebwanga mu mutima wadde amatu, muwakanya Mwoyo Mutukuvu bulijjo; era bajjajjammwe nga bwe baali, nammwe bwe mutyo bwe muli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mmwe abalina ensingo enkakanyavu, abatakomolebwa mu mitima ne mu matu, mmwe muziyiza bulijjo Omwoyo Omutukuvu; nga bajjajjammwe, nammwe bwe mutyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mmwe abajeemu, ab'emitima emikakanyavu, era abagaana okuwulira ebigambo bya Katonda! Muli nga bajjajjammwe, kubanga bulijjo mulwanyisa Mwoyo Mutuukirivu!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmwe abalina ensingo enkakanyavu, abatakomolebwa mu mitima ne mu matu, mmwe muziyiza bulijjo Omwoyo Omutukuvu; nga bajjajja bammwe, nammwe bwe mutyo.